Omulangirizi
Omulangirizi kye kitiibwa ekiweebwa omulwanirizi w'obuwangwa n'ennono era omusomesa w'amagezi ag'ekinnansi.Ono abeera mukulembeze wa buwangwa n'ennono atuddeko amaanyi g'obutonzi[1] negamusobozesa okusomesa, okulangirira n'okuluŋŋamya ensonga z'obuwangwa n'ennono mu Africa. Edda ennyo mu mu bitundu bya Buganda, Abalangirizi baasibukanga ku bizinga bye Ssesse[2] mu nnyumba ya Bukulu. Oluvannyuma Bukulu yasituka naateekateeka Abataka mu Buganda olwo ne watandikawo ennyumba y'Olulyo Olulangira wamu n'okukakasa Kabaka Kintu eyasooka mu ba Kabaka ba Buganda. Kinonoozebwa nti Abalangirizi baaliwo okuviira ddala ku ntandikwa y'ensi mu bw'omwoyo era nga baayamba mu kuteekateeka ensi nga bwefanaana kati.
Abalangirizi baafuna omukisa ne bava mu bw'omwoyo, ne batondebwako emibiri nga bayita mu kuzaaliibwa. Abamu ku balangirizi abamanyiddwa obulungi mwe muli; Mukasa[], Musoke, Muwanga, Musisi, Nnende, Kiwanuka, Kibuuka Omumbaale, Kawumpuli, Wannema, nabalala.[1]
Obuyinza n'obuvunaanyizibwa
[kyusa | edit source]Erinnya ly'obulangirizi lizze likozesebwa mu bitabo ebiwerako mu buwangwa obw'enjawulo okugeza mu kitabo kya bayudaaya[3] ekiyitibwa eky'Abalangirizi[4]. Mu buwangwa [5]bwa Buganda. ne Bunyoro[5] Abalangirizi be bavunaanyibwa ku kwetikka obubaka bw'omutonzi eri abantu. Buli ggwanga lirina Obuwangwa bwalyo era n'Abalangirizi abalina okuluŋŋamya enkola zonna ezigenderwaddwamu okuzza abantu eri Obutonzi.
Ennyumba y'Obulangirizi
[kyusa | edit source]Wadde nga Abalangirizi baali kitundu ky'abwomyo ekinyweza Obutonzi, baafuna embiri, nebazaalibwa nga abantu abalala. Nga bwekiri nti emibiri gibeerawo ekiseera kitono negifa, bwebatyo Abalangirizi babeerawo ekiseera ekigere era emibiri bwegifa, ate bafuna omukisa ne bazaalibwa obujja nga bambala emirimu emirala. Wabula emibiri gye bambala oluusi gikomyawo amabala agalaga byebayitamu mu bulamu obwasooka. Okugeza; Kiwanuka alamba omubiri gwoyo mwabeera abbulukidde nga amuteekako ebbala oba amabala agakitakataka mu kyenyi oba ebitundu ebirala eby'omubiri gwe. Mu kaseera kano, Prince Wasajja Kiwanuka, Omulangira okuva mu bwakabaka bwa Buganda yakulembera ennyumba y'Abalangirizi mu kitundu kya Africa kino.
Obwatikirivu
[kyusa | edit source]Prince Wasajja Kiwanuka amannyiddwa nnyo nga omusomesa w'obuwangwa bwa Buganda, obw'ebifo ebyetoloode Buganda wamu n'ebyafayo bya Africa yonna okutwalira awamu. Musomesa Omutendeke asomesa ku zi Ssentendekero ez'enjawulo mu Uganda, Kenya, Tanzania ne Rwanda. Awandiise ebitabo ebiwerako ebikwaka ku by'ensinza wamu n'ennimi. Ebimu ku bitabo bye bino wammanga;
The True Path to God[2] (2014), The Forbidden Truth [3] (2018)
See also
[kyusa | edit source]References
[kyusa | edit source]Lua error: Invalid configuration file.