Okubeera olubuto
Okubeera olubuto[[1]], kye kiseera omwana oba abaana we bakulira mu lubuto lw’omukyala. Omukazi asobola okubeera olubuto nga lwa balongo oba n’okusingawo. Omukazi asobola okubeera olubuto nga yeegasse n’omusajja oba ng’ateereddwamu nkwaso za musajja mu kukozesa amagezi g’ekinnassaayansi. Olubuto lutera okumala wiiki nga 40 okuva ku kiseera omukazi we yasembera okugenda mu nsonga. Ebbanga eryo libalibwa okutuusa omukazi ng’azadde. Omwana bw’amala okutondebwa munda, ekitonde ekyo kiyitibwa ‘embryo’’ mu Lungereza. Ekigambo ekyo kikozebwa mu wiiki ezisooka omunaana. Wiiki bwe zisukka omunaana olwo ate tukozesa ekigambo, ‘fetus’’ okutuusa mu kiseera omukyala ng’asumulukuse.
Obubonero bw’olubuto
[kyusa | edit source]Obubonero okulabirwa omukazi ali olubuto bwe buno: okulekera awo okugenda mu nsonga, amabeere okuzimba, kaamunguluze n’okusesema, okulumwa ennyo enjala, n’okwagala okufuka okw’okumukumu. Omuntu asobola okukakasa oba ng’ali lubuto ng’akebeddwa.
Ebiseera by’olubuto
[kyusa | edit source]Ekiseera ky’okubeera olubuto kigabanyizibwamu ebitundu bisatu. Ekitundu ekisooka kiva ku wiiki emu okutuuka ku wiiki kkumi na bbiri era kizingiramu n’ekiseera omukazi w’afunira olubuto. Okufuna olubuto kugobererwa eggi okutambulira mu nseke ne ligenda mu nnabaana ne mu kitanyi. Ekiseera kino ekisooka kibeera kya bulabe kubanga omuntu bw’aba wa kuvaamu lubuto, wano we kitera okubeererawo. Ekitundu ekyokusatu kitandikira ku wiiki 13 okutuuka ku wiiki 28. Mu kiseera kino, omukyala asobola okuwulira omwana nga yeekyusa oba ng’azannyazannya munda. Omwana bw’asussa wiiki 28 abeera asobola okulabiririrwa ku nsi n’amagezi g’ekisawo ag’ekikugu obulungi. Ekitundu ekyokusatu kiva ku wiiki 28 okutuka ku wiiki 40.
Omukyala bw’alabirirwa obulungi, kigasa nnyo omwana ali munda. Okulabirirwa okwo kuzingiramu okulya emmere erimu folic acid awerako, okwewala ebidagaladagala n’omwenge, okukola dduyiro, okwekebeza omusaayi, wamu n’okukeberebwa omubiri buli luvannyuma lwa bbanga eggere.
Obuzibu bw’olubuto
[kyusa | edit source]Omukyala ng’ali lubuto atera okufuna obuzibu nga entunnunsi eza waggulu, sukaali ow’ekiseera ekyo ng’ali lubuto, omusaayi omutono, n’okubeera ne kaamunguluze omungi wamu n’okusesema. Waliwo n’obubonero obulala bungi.
Ebbanga ly’okuzaaliramu
[kyusa | edit source]Omukyala atera kuzaala ng’olubuto lumaze wiiki 37 okutuuka ku 41. Olubuto oluzaalibwa amangu lutera kujjira ku wiiki eya 37 ne 38 ate olutuukidde ddala ekiseera kyalwo luba lwa wiiki 39 ne 10. So ng’ate olukereye lusobola okuweza wiikki 41. Abaana abazaaliddwa ng’ekiseera tekinnatuuka batera okufuna obuzibu ku bwongo. Abasawo bawa amagezi nti si kirungi kuleetera mukazi kuzaala ng’olubuto terunnaweza wiiki 39. Kino kizingiramu n’okulongoosebwa; kulina kulindako wiiki 39 okuggyako nga waliwo ensonga endala ez’ekisawo ezitaganya.
Mu mwaka gwa 2013 obuzibu b’wembuto bwaviirako abakyala 293,000 okuva so ng’ate mu mwaka gwa 1990, abaafa baali 377,000. Okuva okwo kutera kuva ku okuvaamu omusaayi munda, obuzibu mu kugezaako okuggyamu embuto, entunnunsi ezaawaggulu, n’okulemererwa okufuna ebisa. Mu nsi yonna, abakyala abafuna embuto ezitali nneetegekere bawera ebitundu 40%. Kimu kyakubiri ku mbuto ezo ziggyibwamu.