Beatrice Kiraso
Beatrice Birungi Kiraso Munnayuganda Munnabyabufuzi ng'amanyikiddwa mu kisaawe ky'ebyobufuzi bya Uganda ne East African Community (EAC).[1] Aweereza ng'omukozi wa Gavumenti okumala eby'asa bibiri nga Mmemba wa Paalamenti akiikirira Disitulikiti y'e Kabarole, Omumyuka w'omukulembeze wa East African Community, era nga lekikyala ku Yunivasite y'e Makerere [2][3]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | edit source]Kiraso yazaalibwa mu kyalo kye Kiburara, mu Ggombolola y'e Hakibale, Disitulikiti y'e Kabarole, Uganda. Ye mwana asooka mu baana ekkumi abazaalibwa omugenzi Edison Amooti Rusoke Kiraso.[4] Olugendo lwe olw'okusoma lw'atandikira ku Kiburara Primary School, n'adda ku Nyakasura School
mu O-Levo ate nagenda ku Kyebambe Girls’ School mu A-Levo. Mu 1981, yagetta ku Makerere Yunivasite, nga yatikkirwa ne Diguli ya Economics and Social Administration mu 1984.[5] Era alina ne Diguli ey'okubiri mu Public Administration saako ne Diguli ey'okubiri mu Public Policy Management okuva ku Havard University.[6]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Mu 1996, Kiraso yalondebwa nga talna amuvuganya mu kifo ky'Omubaka mu Paalamenti akiikirira Disitulikiti y'e Kabarole, ekifo kyeyalwamu olw'emirimu gye yakolera abantu b'omu kitundu kye.[7] Yali mmemba mu Kkakiiko k'eGgwanga akakulu era aweereza ku kakiiko akakwasaganya eby'embalirira mu Paalamenti ya Uganda.[8] Oluvanyuma lw'emyaka mwenda ng'aweereza mu by'obufuzi n'owummula kwe, Kiraso yakomawo mu kisaawe ky'ebyobufuzi okuwagira eyali y'esimbyewo ku bwa Pulenzidenti wa Uganda Gen Henry Tumukunde. Yali musaale nnyo mu kutambuza kakuyege we, okuwanjaga okufuna “Uganda empya” n'enjogera eya "Kisoboka".[9][10]
Bye yakola mu East African Community
[kyusa | edit source]Kiraso yaweereza nga omumyuka Akulira ekibiina ekirwamirira obumu mu by'obufuzi ekya Political Federation for the EAC. Mu kisanja kye, yamalako ebisanja bibiri eby'emyaka esatu era yali wa nkizo nnyo mu kulondola emirimu egikolebwa mu East African Federation n'okulinyisa omutindo gw'eby'obufuzi mu mawanga ga EAC.[11][12]
Omukululo gw'eyaleka ne by'akoze
[kyusa | edit source]Kiraso bwe yakulemberamu mu kussa essira kku bumu obw'enkukunala mu kibiina kya East African Community n'okutandiikibwa kwa East African political federation processes, ky'aviraako okukazibwako elinnya lya "Mama Federation".[13] Mu 2016 ye yakulembezebwa mu kwesimbawo ku kifo ky'akulembera akakiiko ttabamiluka aka International Conference on the Great Lakes Region olw'obumanyirivu bwe yalina mu nsonga ezikwata ku ,amawanga ag'enjawulo n'okumalawo obutabanguko.[14][15]
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
- ↑ https://www.newtimes.co.rw/article/126422
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/kiraso-journey-from-retirement-to-running-tumukunde-s-campaign--2303680
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/kiraso-journey-from-retirement-to-running-tumukunde-s-campaign--2303680
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
- ↑ https://www.newtimes.co.rw/article/72691/beatrice-kiraso-aeac-political-integration-is-on-right-coursea
- ↑ https://allafrica.com/stories/200605020067.html
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/why-history-of-flip-flopping-might-come-back-to-haunt-tumukunde-1921822
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/kiraso-journey-from-retirement-to-running-tumukunde-s-campaign--2303680
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
- ↑ https://www.newtimes.co.rw/article/72691/beatrice-kiraso-aeac-political-integration-is-on-right-coursea
- ↑ https://chimpreports.com/uganda-nominates-beatrice-kiraso-for-icglr-top-job/
- ↑ https://ugandaradionetwork.net/story/beatrice-kiraso-fronted-for-icglr-job?districtId=499