Jump to content

Jane Mulemwa

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Jane Nambakire Mulemwa Munnayuganda mukugu mu kutabula eddagala era musomesa. Ye Ssentebe w'ekitongole kya Petroleum Authority of Uganda.[1]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu massekkati ga Uganda nga 18 Ogwomwenda 1953. Yasomera ku Mount St Mary's College Namagunga. Obukugu mu kutabula eddagala n'ebisolo ku Ssettendekero wa Makerere, nga yatikkirwa Diguli ya Bachelor of Science nga yagattako Dipuloma mu busomesa. Okuva mu 1976 okutuusa mu 1979, Diguli ye ey'okubiri mu kutabula eddagala yagiggya Makerere. Yasomera ku Queen's University Belfast okuva mu 1980 okutuusa mu 1982, nga yatikkirwa Doctor of Philosophy mu kutabula eddagala mu 1982.[2]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Nga asoma Diguli ye mu mateeka okuva mu 1976 okutuusa 1979, Mulemwa yali asomesa mu dipaatimenti y'obusomesa ku Yunivasite era yasomesa n'abayizi eryali okumpi erya Makerere College School. Wakati wa 1980 ne 1982, nga yali asoma Diguli ye eya doctorate degree mu Belfast, yali "demonstrator" eri abayizi b'okutabula eddagala ku Queen's University Belfast, Obukiikakkono bwa Ireland.

Yakomawo mu Uganda mu 1982 okubeera Lekikyala w'essomo lya chemistry ne sayansi ku Yunivasite y'e Makerere. Mu 1988, yaweerezaako nga lekikyala omukulu ow'essomo lya chemistry ne sayansi mu dipaatimenti ya Science and Technical Education, nga yaweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1998. Oluvanyuma y'egatta ku kakiiko k'ebyenjigiriza aka Education Service Commission, nga yalinyisibwa okutuuka ku ddaala ly'omumyuka wa Ssentebe.

Mu 2015, yalondebwa Pulezidenti Yoweri Museveni okukulembera ekitongole ekipya ekyali kitandikidwawo ekya Petroleum Authority of Uganda, ekyali kikulembera ekkolero ly'amafuta. Mu Gwomwenda 2015, Paalamenti ya Uganda y'akkiriza okulondebwa kwe.[3][4][5]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1417818/national-petroleum-authority-seeks-recruit-chief-executive-officer
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2024-04-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. http://ugandaradionetwork.com/story/petroleum-authority-boss-oil-sector-requires-total-transparency
  4. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1410845/invest-energy-resources-development-capacity-museveni
  5. http://www.chimpreports.com/museveni-commissions-national-oil-company-petroleum-authority

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]